classiera loader

Ebitukwatako (About ttunda)

Tukwaniriiza nyini ddala ku ttunda Classifieds, era weebale otukyalirako n’okwagala okumanya ebitukwako. ttunda yatandiikibwawo nekigendererwa eky’okugonzaamu engeri ba nna yuganda gye bayinza okuttunda ebintu byabwe ebipya n’ebyo ebikozessedwaako.

Ssi ekyo kyokka nno, tukimanyi nti abeemikwano bangi balina ebintu byabwe bye beettaaga okulangirira eri ababaliranye nti ob’olyaawo bandibaako ny’ebyo bye bayinza okwaagala.

Nnolweekyo, ttwatandiikawo omukuttu oguyinza okubayamba okutteeka bye baagala eri ba nna yuganda banaabwe. Ggamba ebintu nga; ebyo ebikozesedwako, abanoonya emirimu n’abeettaaga abakozi, ettaka, amaffuriggi, TV, ebiiduka ggamba nga amamotoka, piki piki , n’ebirala ebri ng’ebyo.

Engeri ey’Okozessaamu ttunda Classifieds

Okukozessa omukuttu ogwa ttunda classifieds ssi kizibu. ky’olina okukola kwekukola ebintu bino wamanga:

  1. Okuggulawo akawunti yo ng’okozessa yimeyiro yo okwewandiisa
  2. Bwomala ng’onyigga epeesa eliri wansi wa plofayiro yo elirambikiddwako “ttunda kati”
  3. Bwomala ng’owandiika ebikwaata kw’ekyo ky’oyagala okulangirira
  4. Bwomala, ng’onyigga epeesa elirambikidwako “Kittekeyo kati”

Kyangu nyo era nawe osobola okyeekolera!

Ebitukwatako Ebikulettera Okutwesiga

Bantu abali emabega w’omukuttu guno bategerera ddala engeri ebirango eby’okuyintanetti gy’ebikolamu. Ekintu kino, ttukibaddemu okumala emyaka nga ttukolera emikuttu emirala. Ttukoledde egimu ku mikuttu egissingayo munsi yoona ggamba nga; Kijiji, Gumtree, 2ememain, ne Ebay. Laba wano wamanga ebimu kw’ebyo by’oganyulwa ng’okozesa omukuttu gwa ttunda:

1. Obukuumi

Okuttunda ebintu ku yintanetti kujjudde obuffere, obulyaake, n’obuyaye. Bwo kozesa omukuttu ogutafaayo ku nsonga nga zino, oyinza omalirizza ng’obiddwa. Wano ku ttunda, abakozi baffe battendeke bulungi era basiiba beekenenya ebittekebwa ku mukuttu.

Nnolwekyo, oyinza okujja ku mukuttu gwaffe nobumattivu nti waliyo abagukuuma

2. Ennimi

Ttukimanyi bulungi nti oluzungu abamu ttelubagendera bulungi, kino ttekisaanide okulemesa okulangirira eby’obyo by’oyagala ba nna yuganda balabe. Oyinza okutteekayo ebintu byo muluganda oba muluzungu. n’Ennimi endala tujja genda tuzongerako mpola mpola.

3. Abalabi Bali ku Mulirwano

Abakozesa omukuttu gwaffe ba nna yuganda banno. Tteri muntu atteekayo ekirango nga tali wawanno mu yuganda mpozi ng’atutukiridde neyeyanjula era netukakasa nti ddala talina kigendererwa kikyamu. Kale nolweekyo, oyinza okuttukirira oyo atteeseyo ekirango ng’olimukakaffu nti okusisinkana ssi kwambiriggo.

Zzino ze zimu ku ngeri zzoganyulwaamu ng’okozesa omukuttu gwa ttunda okulangirira ebyo by’oyagala ba nna yuganda bano okumanya. Awatali kubusa busa, ttukimanyi nti ojjakunyumirwa okukozesa omukuttu guno.

Weebale nyo okutwala obudde bwo n’ossoma ebitukwatako. Kale owomukwano, ttolinda kati, tteekayayo ekirango kyo otandiike okuffuna abaguzi! Ntwalayo kati!