classiera loader

Enkola n’Obukwakulizzo

[maxbutton id=”1″]

Eno y’Enkola n’Obukwakulizzo ebijja ogobererwanga ng’okozzesa omukuttu gwa www.ttunda.com Awamu n’Engeri gy’Etutwaalamu Ebikukwatako, n’Obkwakulizzo obugobererwa ng’okozzesa ka siimu akomungalo nga ogenda ku mukuttu, n’engeri ey’oteekayo ebirango ekirizibwa, n’ebirala byonna ebizingirwamu ng’okozzesa omukuttu gwaffe. Binno bye bijja okola ng’endagaano eri wakati wo (gwe agenda ku mukuttu gwa ttunda.com) naffe (ttunda digital Enterprise) ba nanyini mukuttu.

ttunda Digital Enterprise y’ebaletera ttunda.com ng’essinziira ku Kingsgate Mall ekabalagala, ku aggaba road, nga tuli mu room namba F22.

Akawunti Yo. Wadde nga buli muntu assobola ogenda kumukuttu gwa ttunda ng’ali ku yintanetti, kiyinza okwetagissa okwewandiisa okozzesa omukuttu mubujjuvu. Mu kwewandiisa, oggulwo akawunti ng’okozzesa yimeyiro yo ne passiwadi (Akawunti Yo). Yimeyiro gy’okozzesa etteekwa okuba nga yiyo era gwe avunanyizibwa okuuma passiwadi yo nga ya kyama. n’Ekirala gwe avunanyizibwa kw’ebyo byonna ebikolebwa wansi wa akawunti yo. Nolwekyo, otteekwa okuuma passiwadi yo butiribiri era nga nzibu ogitteebereza

Oyinza okozzesa emperezza yaffe ng’okozzessa ekitongole kyo era notuwa obuyunza otereka ebikikwatako. Bwoba ng’oyagala ottegera engeri gy’etukwatamu by’obotuwadde, goberera ka linki kano. Singa wabaawo

embeera yonna eyinza okuleetera olowooza nti byotuwadde biri mukatyabaga, tutukirire wano mubwangu ddala.

Engeri y’Okozzesa Empereza Yaffe. Bwoba okozzesa omukuttu gwaffe, okirizibwa otteekayo ebirango byo mu mattuluba goona naye tokirizibwa okukola bino wamanga:

 • Okumenya amateeka ga ttunda oba otteekayo ebintu ebitakirizibwa
 • Okulimba oba okubuzabuza abalala
 • Okuyingirira obuyinza bwabalala oba obuyinza bwebitongole byabwe nga tokiriziddwa
 • Okuwereza abalala yimeyiro ezitasaanidde, yimeyiro ezokumukumu, oba obakubiriza beeggate ku buguruppu obwesigamye ku ‘leetayo omuntu offune’
 • Okusasaanya vayirasi za komputa oba tekinologiya yenna ayinza okwononna erinya nebigendererwa bya ttunda nabo abagikozzesa
 • Okukopa, okukyusaamu oba okusasaanya positi zzabano
 • Okukozzesa buroboti oba tekinologiya yenna akuŋŋaanya ebiri kumukuttu nga toffunye buyinza kuva eri bananyini ttunda
 • Okuŋŋaanya ebikwata ku balala gamba nga yimeyiro zabwe, positi zabwe nebirala ebiri ng’ebyo
 • Okukozzesa obukujukuju ogenda ku ttunda ng’owereddwa
 • Otteekayo ebintu ebimenya amatteeka ga govumenti ya Uganda
 • Otteekayo ebintu ebiyingirira edembe ly’abalala
 • Otteekayo ebifaananyi ebyobukaba oba ebigwenyufu oba eby’obuseeggu
 • Otteekayo ebirango eby’obusamizze ( oba ebirala ebiri ng’ebyo), ebyobufuzi oba eby’eddini mungeri eyinza olaga abalala nti ttunda ewagira ebyo byotteeseeyo kumukutu.
 • Ottekayo ebirango ebiyinza olinyirira edembe ly’abalala ne birala ebiri ng’ebyo.

Bwewabaawo oyo yenna amyenya amatteeka ga ttunda. Singa wabaawo oyo yenna gw’olowooza nti ali mukumenya amatteeka ga ttunda, kozzesa akapeesa ka “Loopa” akasaangibwa kumukono gwa ddyo akaliraanye akapeesa ka “Kiteereke okilabe eddako” ottutegeeza. Mungeri eyo ffena tuyunza okkolera awamu okukuuma omukuttu gwa ttunda nga gweyagazza eri agukozzesa yenna. Tuyinza otteeka nnatti oba okuweera oyo yenna akozzesa ttunda mungeri enkyamu era tuyinza okugyayo byattesseeyo nokugoberera amatteeka okuziyiza oyo yenna akozzesa ttunda mungeri ereetera abalala ebizibu oba emenya enkola n’obukwakulizo buno. Naye kijukire nti, ffe nga bananyini ttunda ffe abasalawo otteeka ebyo ebyogeddwako wagulu munkola oba nedda, ttetukiriza kutwala obunanyizibwa obw’okwekenenya ebyo byonna ebitteekebwayo abo abakozzesa ttunda okukakasa oba bimenya amatteeka oba bibidwa. Tukusaba weyambisse amagezzi gaffe agali mu positi eya “Wekuume Ababbi n’Abaffere ng’Okozesa Emikuttu gy’Ebirango ku Yintanetti” ossobole okwewala abo abalina ebigenderwa ebikyamu. Tubawadde buwwi wemuyinza otteeka ebirango byamwe bissobole olabibwa abo bonna abajja ku mukutu gwa ttunda naye mutteekeeyo nga mugoberera enkola enno n’obukwakulizzo bwe tubawadde, singa mutteekayo ebintu banamatteeka bye balowooza nti tebisaanidde, mwe mujja ovunanyizzibwa ebyo bye babavunanye. Nolwekyo mutteekeyo ebirango byamwe nga abantu abobuvunanyizzibwa.

Emiwendo n’Ebissale by’Empeereza Yaffe. Okozzesa ttunda kwabwerere. Naye tuyinza okusasuza ezzimu ku mpeereza zaffe. Singa empeereza gyokozzesa yetaaga ogisasulira, kijjakwetaagisa okwetegereza era n’okukiriza emiwendo egiba gikusabidwa. Emiwendo gyonna gy’osasulira gijja kuba mu ssente za Uganda nekirala tuyinza ogikyussamu ebisseera ebimu naye kino tujjakuba tukibattegeeza nga bukyali. Essente zoba ossasudde tetussobola ozikudizza singa oba otandiisse okozzessa empereeza gy’oba osassulidde.

Singa wabaawo byottunda nga byettaagisa ossusulira omusolo nebirala ebizingirwamu, gwe ng’omuttunzi, gwe abavunanyizibwa ku nsonga zonna ezizingirwamu.

Wadde nga empeera yaffe essangibwa ku mikuttu gyombiriri (Luganda n’Oluzungu), empeereza ezzimu ziyinza okyukamu okusinzira ku kyokozzesa ogenda ku mukuttu gamba nga komputa oba esiimu ey’omungalo.

Ebiri ku mukuttu. Omukuttu guliko ebintu ebiva eri ffe, eri mwe, n’abalala abakozzesa ttunda (n’ebimu kubitongole oba abantu abeegasse awamu ne ttunda). Bwosalawo okukozzesa ttunda, okiriza obutakoopa, okyusaamu, oba okudamu osasaanya ebintu ebitakuwereddwa olukusa. Bwotuwa ebirango byo, oba otuwadde obuyinza bwonna awatali kwemulugunya kwonna era oba otukiriza obikozzesa mungeri yonna gyetuba twagadde obikozzesa nga tubisasaanya ku mukuttu gwa yintanetti. Singa wabaawo kyonna ekikulowozzesa nti waliwo ebikoleddwa nga tebigoberedde obuyinza bwoba otuwadde ttutegeze bunambiro ku ttunda Support tussobole okinonyrezaako. Tussigazza obuyinza okujjayo ku mukuttu ebintu byonna bye tulowooza nti tebigoberera enkola enno n’obukwakulizo bwako.

Engiri ey’Oloopamu Abababayingiredde Obuyinza Bwebintu Byo. Tokirizibwa otteekayo ekirango nga si kikyo oba nga si kya kampuni yo. Kino kitwalilirizibwamu ebintu ebilambiddwako erinya ly’ekitongole eliwandisse era nga ttekikoma kw’ebyo byoka ( omwo mwetutwalira n’ebintu ebitatukiridde kumutindo) n’ebirala ebiringa ebyo. Tokirizibwa otteekayo ebirango ebilaaga nti kitongole gundi kyekitteesseeyo ebirango ebyo bwobanga towereddwa lukusa mubuwandike olulaaga nti okiriziddwa obitteekayo. Ffe nga bananyini ttunda tusigazza obuyinza okugyaayo ebirango by’etulaaba nti bimenya enkola enno n’obukwakulizzo bwako awamu n’obuyinza bwabo abakozzesa omukuttu gwa ttunda. Goberera binno wamanga bwobanga weetaaga oloopa oyo yenna gwolowooza nti ayindiridde obuyinza bwebintu byo oba obwekitongole kyo;

 • Nanyini yekka yassobola oloopa oyo ayingiridde obuyinza bwebintu bye oba obwekitongole kye
 • Tuweereze ID yekirango, omutwe gwakyo, n’erinya lyoyo akitteesseeyo eryokumukuttu.
 • Tutuukirire ku yimeyiro yaffe eya support@ttunda.com

gy’okozzessa okussasulira empeereza yaffe gamba nga mobile money oba banka kuba ttukimanyi awatali kubusabusa nti bwosalawo okozzesa engiri nga ezo okussasulira empeereza nga eya ttunda engri ezo nazzo ziba n’enko n’obukwakulizzo bwe zzikuwa ossobola ozikozzesa so nolwekyo singa wabaawo obuzibu ngo

sassulira empeereza yonna eya ttunda katugambe nti ssente zosasudde tezittuuse eri aba ttunda, tukusaba otukirire abo abavunanyizzibwa engeri gy’okozzeseeza otussasula kubanga

ffe. Wadde nga ttulina engeri ettuyamba okakasa oyo yenna ey’ewandiisa, ebintu ebisinga kumukuttu gwa ttunda biva eri abo abagukozzesa so nolwekyo ttetussobola okukakasa nti ebitteekedwayo bittuufu mugeri y’obudde bwe bittekedwayo, mungeri y’omuwendo gwabyo, nebirala ebiringa ebyo. So tukusaba weyongere obinonyerezaako ossobole okakasiza ddala nti bittuufu. Oyinza okweyambisa positi yaffe eya “Beera Mukenkuffu mu Kwekenenya Abaffere” offune amagezzi ng’okozessa emikuttu egyebirango ku

yintanetti.

Nekirala, tweeganira ddala obuvunanyizibwa bwo kakasa anti ebyo byonna ebitteekebwa kumukuttu gwa ttunda biringa ababitteekayo bwe bagamba munsonga zobulungi bwabyo, muwendo gwabyo, abwananyini  n’obukakaffu. Si ffe abavunanibwa singa wabaawo okuffiirwa kwona okuva munkolagana naabo abayinza olaaba ekirango kyo nebakuttukirira. Ffe ttubawaadde buwwi wemuyinza otteeka ebirango byamwe mussobole offuna ababiraba ttetusobola otegera ebigendererwa byabalabi bebirango byo.

Singa obaako ne kyoffiriidwa. Okiriza obutatuvunana n’obutatutteekako loosi oba musango gwona (kino kizingirwamu abakozzi ba ttunda n’ebitongole ebikolera wamu ne ttunda obattuusaako empeereza enno) singa wabaawo enffiirwa yonna luvanyuma lwokozzessa omukuttu gwa ttunda. Nekirala, singa gwe (omulaabi w’ekirango) weeyongera nosisinkana ne nanyini kirango oba nanyini kirango osisinkana oyo eyalabye ekirango kye ku mukuttu gwa ttunda, ensonga eba evudde mumikono gy’affe eba eri wakati wo (omulaabi we’ekirango) ne nanyini. Nolwekyo, oba totutteekako ebiva bivudde mukusisinkana kwamwe. Gwe ajja ovunanyibwa singa wabaawo oyo yenna eyeemulugunya ku nsonga y’ebyo bye muba muteeseezaako si ffe. Era ffe nga bananyini mukuttu gwa ttunda ttetulina kyona kyetuba tussasula singa wabaawo kyonna ekiffiiridwa ere ttusigaza edembe eryokwerwanako mugeri eyamatteeka okakasa nti ttetulina musango.

Engeri gy’etukwatamu ebikukwatako. Bwokozzesa omukuttu gw’ebirango ebyo kuyintanetti ogwa ttunda, oba okiriiza ttunda Digital Enterprise ekuŋŋanye ebikukwatako, ebitereka, era ebitambuzza kumukuttu gwa yintanetti. Eterekero lino liri mu gwanga ly’Amerika era bwoba oyagala otegera ebisingawo oyinzi okebeera Engeri gy’Etukwatamu Ebikukwatako mu ka linki Kano

Mubumpimpi. Enkola n’obukwakulizzo buno bwebujja okkola ng’endagaano eri wakati waffe bananyini mukuttu gwa ttunda nawe agugendako oba oyo yenna aggokozzesa. Endagaano enno egoberera amatteeka ga gavumenti ya Uganda. Endagaano enno tuyinza oggikyusaamu era tujja kuba ttubategeeza ennaku 30 mumaaso nga tetunagitteeka munkola. Singa wabaawo kyonna kyo wemulugunya ku nkyukakyuka tutuukirire ku ttunda Support